Ekibiina kya Democratic party kyadaaki kimalirizza okulondesa obukulembeze bw’ekibiina kino ku byalo okwetoloola eggwanga wadde nga okulonda kuno tekwajumbiddwa.
Enteekateeka y’okulondesa obukulembeze bw’ekibiina DP ku byalo emaze ennaku 7.
Wabula naye okusinzira kubamu ku bannakibiina, ebyalo ebisinga obungi tebyategedde kulonda kuno era bangi tebalonze mu kalulu kano.
Enteekateeka y’okulonda kuno yegenda okutwala banna kibiina mu kalulu ak’okukyuusa obukulembeze bw’ekibiina obwawaggulu okugenda okubeerawo mu mwezi ogujja ogwa May.
Akolanga omwogezi wa DP Ismail Kirya agambye nti wadde nga waliwo okwemulugunya nti ebyalo bingi tebyafunye bikozesebwa mu kulonda ku byalo ensonga zino bagenda kuzigonjoola.
Kirya bwabuzidwa ku muwendo omutono ogwenyigidde mu kulonda kuno agambye nti banna kibiina kya Dp abatuufu bbo benyigidde mu kalulu kano,nti ate waliwo n’abakulembeze mu kibiina ababuzabuza abantu mu ntekateeka eno egenda mu maaso, nti bandiba nga bebagezaako okutabula abantu nebawubisibwa.
Mu ngeri yeemu okulonda kw’abakulembeze ba DP ku mutendera gw’emiruka kujiddwako akawuuwo.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif