Abantu 40 bebasuunsuddwa okukwatira bendera ekibiina ki Democratic Front mu kalulu akajja aka 2026, ku lunaku lwakyo olusoose olw’okusuunsula.
Abantu mwenda abagala okukwatira ekibiina kino bendera ku bifo by’obubaka bwa parliament ,abalala ba ssentebbe ba districts, ba kansala ,ne ba ssentebe bamagombolola.
Ku basunsuddwa abagala ebyobubaka bwa Parliament kubaddeko Walter Samuel Lubega Mukaaku ayagala ekya Lubaga South, Shamim Nangobi ayagala kya Jinja West , Flavia Nakafeero ayagala Kya Mubaka omukyala owa district ye Wakiso saako Hakim Ssemuwemba Ndawula ayagala ekifo kya Busiro South
Ssentebbe w’akakiiko kebyokulonda era nga ye Ssaabakunzi wa DF Henry Lubowa, agambye nti entandiikwa tebadde mbi, era nti basuubira omuwendo omunene ddala olwabantu abaalaze edda nti bagenda kuzaayo empapula
Enteekateeka yokusunsula abagala okukwaatira DF bendera yakumala omwezi mulamba, okutuuka nga 15 August,2025, eri abesimbyewo ku bifo bya government ez’ebitundu saako 22 August eri ababaka ba parliament.#













