Government ya Uganda ng’eyambibwako ekitongole kya Global Fund, baliko doozi zeddagala ly’empiso ery’ekika kya Lenacapavir lyebatuusizza mu ggwanga erigenda okukubwa abantu abali mu bulabe bwokukwatibwa mukenenya.
Government egamba nti doozi eziwera 19,200 zezaakafunibwako okuyambako banna Uganda abali mu bulabe bw’okukwatibwa siriimu.
Eddagala lino lya mpiso era omuntu afuna doozi 2 buli mwaka nga buli mpiso emukubwa oluvanyuma lw’ebbanga lya myezi 6.
Eddagala lino teriwonya mukenenya wabula liyambako okutangira okusaasaana kwakawuka ng’omuntu akubiddwa empiso eno, newankubadde yegasse nabantu abalina akawuka, emuyambako obutasiigibwa kawuka ako.
Kitegerekese nti eddagala lino ligenda kutandika okugabanyizibwa mu malwaliro agenjawulo okutandika n’omwezi ogujja ogwa March,2026, okusinziira ku bwetaavu obunaana bulabiddwa ministry yeebyobulamu mu bifo ebyo.
Dr Kadama Hebert, omukungu mu ministry y’ebyobulamu avunanyizibwa ku ddagala erigwa mu kika kino, agambye nti abantu abasoba mu 300 bebagenda okusooka okuganyulwa mu ddagala lino, mu malwaliro ga government naagobwananyini.
Agambye nti abavubuka wakati w’emyaka 15 okutuuka ku myaka 24, abakyala abali embuto naabayonsa, abavubi, abakyala naabamu abalenga akaboozi, abagoba beebimotoka ku ngendo empanvu bebasuubirwa okusooka okuganyulwa mu ddagala lino.
Emmanuel Ainebyona, ayogerera ministry y’ebyobulamu agambye nti eddagala lino lyakugabibwa bwereere, mu malwaliro gonna.
Eddagala lino likolebwa kampuni eya Gilead Sciences, era lyakirizibwa National Drug Authority okukozesebwa mu Uganda.
Amawanga okuli Uganda, Zambia ne Eswatini gegamu ku gaanokolwayo nti gali mu bulabwe bw’okuba n’omuwendo omunene ogwabantu abawangaala nakawuka ka mukenenya.
Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole kya Uganda Aids Commission, ne Immaculate Owoomugisha, akulira ekitongole kya Center for Women’s Justice, ekitakabanira abalina akawuka kaamukenenya mu byamateeka, bategeza nti eddagala terimala wabula naasaba gavumenti eyongere okuvujjirira ensimbi ezokugula eddagala eriweweeza ku kawuka akaleeta mukenenya.
Okunoonyereza kulaga nti Banna Uganda abasoba mu mitwalo 37,000 bebakwatibwa akawuka buli mwaka, nga kino kitegeeza nti buli wiiki abantu abasoba mu 1,000 bebakwatibwa akawuka.
Abantu akakadde kamu n’emitwalo 50 bebateeberezebwa okuwangaala nakawuka ka siriimu mu Uganda, naye nga kubano emitwalo 20 tebali ku ddagala.
Sarah Nakku, omukungu mu kitongole kyensi yonna ekirwanyisa mukenenya ekya UNAIDs, agamba nti abantu basaanye okwongera okwewala amakubo agaviirako okusaasaana kwa mukenenya, Uganda bweba yakutuuka ku kirooto ekyokumalawo siriimu ng’omwaka 2030 tegunayita.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











