Cecilia Ogwal abadde omubaka omukyala owa district ye Dokolo avudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 77 egy’obukulu.
Cecilia Ogwal abadde yakazibwako erya ‘Iron Lady’ afiiridde mu ddwaliro e India ekirwadde kya Kookolo.
Cecilia Barbra Atim Ogwal yazaalibwa nga 12 June,1946.
Yaliko Nalulungi wa Uganda mu 1969.
Cecilia Ogwal yakuguka mu by’enfuna n’obusuubuzi byeyasomera mu University of East Africa e Nairobi Kenya ( University of Nairobi) gyeyafunira bachelor’s degree in Commerce
Yakolerako ku kitebe kya Uganda e Kenya, Uganda advisory board in Trade, yakolerako mu Housing Finance bank (1982-1984), yaliko ssentebe wa Uganda Development bank okutuuka mu 1986.
Wakati wa 1985 ne 1992 yakolanga Ssaabawandiisi w’ekibiina kya UPC
Yali omu ku bakiise ba Constituency Assembly abaabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Yayingira parliament mu 1996 mu kibiina kya UPC, wabula mu 2010 yakyabulira neyegatta ku FDC.
Cecilia Ogwal abadde atuula ku kakiiko ka parliament akalondoola eby’ettaka,amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga.
Yaliko ku kakiiko akeekeennenya embalirira y’eggwanga.
Abadde munnabyabufuzi anywerera ku nsonga, era omulwanyirizi w’eddembe ly’abakyala n’abaana abawala.#