CBS ng’ejaguza emyaka 27 bukyanga egenda ku mpewo, abamu ku baaliko abakozi ba CBS bakomyewo okwejjukanya nga baweereza program zebaakolanga ku mikutu gyombi 88.8 radio y’obujajja ne 89.2 Emmanduso.
Abamu ku baweerezza bano kuliko Ahmed Bogere Masembe ne Pamela Watuwa abaaweerezanga program ya Evenning Cruise ku radio Emmanduso 89.2.
Abalala ye Rasta Rob Mc, Davis Kiragga eyeyitanga Baaba Kavuyo, Kalibattanya, Shanks Vivid, Raila Kalanzi, Hajjat Hadijah Kinobe, n’abalala.