Ssaabasajja Kabaka ayagalizza abaddu ba Allah Eid El fitr eya 2026 – asabye akulembeze abaalondeddwa okutuukiriza ebisuubizo
Cbs ekwagaliza Eid ennungi – Eid Mubarak
Abaana abasoba mu bitundu 40% mu Uganda tebalabangako ku bazadde babwe
Katikkiro Mayiga atongozza omuyungagano ogunaakozesebwa okusonda ensimbi ez’okuzimba ekifo ewanaakyusizibwa obusomyo bw’abalwadde ba Nnalubiri
Senegal egyiddwako obuwanguzi bw’ekikopo kya AFCON 2025 – kiweereddwa Morocco ne ggoolo 3
Parliament eyisizza etteeka ku biyiiye – abanaalimenya bakusibwa emyaka 10 oba okusasula obukadde bwa shs 40
Ssaabasajja Kabaka asiimye naalambulako ku basuubuzi b’akatale ke Katwe akaayidde omuliro emmaali nesaanawo – bagambye bafunye essuubi eriddamu okukola n’amaanyi
Police ekutte abakozi 7 aba Court Yard hotel bagiyambeko mu kunoonyereza ku batemu b’emmundu abaalumba omubaka Enos Asiimwe Kanywamacunda
Parliament eyagala eddwaliro ly’e Kiruddu libeere lyabwereere awatali kusasulayo sente neemu – aba ‘Private’ baggyibwewo abagala bagende mu g’obwannanyini
Canon Fred Kazibwe abadde akulira King’s College Budo awaddeyo wofiisi eri Godfrey Kasamba headmaster omujja
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM

CBS-PEWOSA NGO

Okuva ku kkono;Oivind Ermando Reinertsen avudde mu Norwagian Agency on exchange Cooperation,omuk.Micheal Kawooya Mwebe akulira CBS FM, Marit Erdal ne Florence Luwedde akulira CBS PEWOSA NGO.

Radio Buganda CBS FM  ezizza bujja enkolagana yaayo n’e kitongole kya Norway, ekya Norwegian Agency for Exchange Cooperation mwebayita okuwanyisiganya abavubuka abalina obukugu obwenjawulo, nabaakava mu mussomero, okutumbula embeera zabwe nébitundu gyebawangaalira.

CBS FM endagaano gyeyasooka okukola nékitongole kino yali ya myaka 5 , era mwebayita okuweereza abavubuka 2 mu Norway okufuna obukugu mu bintu ebitali bimu, omuli ebyobuwangwa, Technologiya nengeri yokulakulanyamu ebitundu gyebabeera.

Norway okuyita mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation wamu ne Stromme Foundation, nabo bakuleeta abavubuka 2 okuweerereza mu kitongole kya CBS Pewosa NGO.

Babadde mu studio za CBS FM

Abakungu okuva mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation okubadde omuwi wamagezi Marit Erdal,  n’omulondoozi w’e nteekateeka Oivind Armando Reinertsen basisinkanyemu senkulu wa CBS omukungu Micheal Kawooya Mwebe mu wofiisi ye ku Masengere okwongera okuttaanya ku  nteekateeka eno.

Omukungu Kawooya Mwebe agambye nti enteekateeka eno ekyusizza nnyo entambuza y’e mirimu mu bitongole bya Ssaabasajja ebitali bimu, era bakwongera okugikwata obulungi bongere okujjamu ebibala.

Akulira okulondoola emirimu mu kitongole kya Norwegian Agency for Exchange Cooperation Oivind Armando Reinertsen atenderezza CBS FM olwolwenyigira mu kukyusa embeera z’a bantu.

Babadde Nanziga nga balambula ekifo ky’abawala webayigira okutunga engoye

Akulira CBS Pewosa NGO, Florence Luwedde agamba nti bakukozesa program eno okutwala ekitongole kya Cbs Pewosa NGO mu maaso, n’okusomesa abavubuka emirimu gy’omikono okwekulakulanya n’ebitundu gyebabeera.

Bakyaddeko e Nanziga ku kifo Abaana abawala webasomesebwa okutunga engoye n’okusiba enviiri.

Abaana bano Bali mu project eyitibwa ‘BONGA’

Mu nkolagana eno, ekitongole kya CBS PEWOSA kyakutumbula enkola yémirimu gyakyo nébitundu mwebakolera, nga bawanyisa obukugu ne  bannabwe abava e Norway.

 

Welcome Back!

Login to your account below

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Add New Playlist