Abadde akulira essomero lya Kings College Budo Canon Fred Kazibwe awaddeyo wofiisi eri amuddidde mu bigere, oluvannyuma lw’Obuweereza bwa myaka 4 nga yaalikulira.
Godfrey Kasamba ye mukulu w’Essomero lino ow’omulundi ogwe 15.
Canon Fred Kazibwe bw’abadde awaayo wofiisi agambye nti obuweereza bwe bumubeeredde bulungi olw’ebituukiddwako ebingi, omuli Ebizimbe ebipya, Okwongera mu muwendo gw’Abayizi n’Omutindo gw’Ebisomesebwa, kyokka neyeekokkola bannakigwaanyizi ababbi b’Ettaka ababadde baagala okuziηηamya enkulaakulana.
Canon Fred Kazibwe yebazizza Abazadde , Abasomesa n’Olukiiko olufuzi olwessomero abamusobozesezza okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa.
Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa Kings college Buddo Katende Jimmy Rogers yebazizza Canon Fred Kazibwe olw’Okwongera ku muwendo gw’Abayizi abayingizibwa buli mwaka.
Omukulu w’Essomero omujja Kasamba Godfrey yeeyamye okuweereza n’Obwerufu, era yeebazizza Ekkanisa n’Obwakabaka bwa Buganda olw’Obuwagizi bwafunye.
Bisakiddwa: Kato Denis










