Club ya Vipers eya Uganda egenze Botswana okuzannya ne club ya Jwaneng Galaxy, ku mutendera ogusooka ogw’okusunsulamu club ezinesogga omutendera gw’ebibinja mu mpaka za Africa eza CAF Champions league.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku sunday nga 20 August ,2023 kusaawa 10 ez’olweggulo mu kisaawe kya Lobatse Sports Complex.
Omutendesi wa Vipers, Leonard Martins Neiva, yatutte ttiimu y’abazannyi 21, era ttiimu zonna zakuddingana nga 26 August, mu kisaawe e Kitende.
Omuwanguzi wakusisinkana n’omuwanguzi wakati wa club ya Orlando Pirates eya South Africa ne Djabel eya Comoros.
Vipers ekiikiridde Uganda mu mpaka zino, oluvannyuma lw’okuwangula Uganda Premier League season ewedde, ate nga mu mpaka za CAF Champions League season ewedde bawandukira mu kibinja.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe