Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Butambala lukoze enkyukakyuka mu lukiiko olw’emirimu egy’ekikugu mu kwongera okuggumiza ttiimu eno okuvuganya obulungi mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere mu mpaka z’omwaka guno 2025.
Mu nkyukakyuka zino, Butambala eronze Paul Kiwanuka nga omutendesi omugya, olwo abaddewo nga omutendesi ow’okuntiko Hassan Mubiru Kaseese, bamuziza ku kifo eky’obumyuka.
Omutendesi omuggya Paul Kiwanuka alina obumanyirivu obuwerako mu mpaka zino ez’amasaza, nga yatendekako Kyadondo mu 2008 lweyawangula ekikopo ky’amasaza kyokka kyerina, n’addamu okubatendeka mu 2019 ne 2013.
Paul Kiwanuka era atendeseko Busiro mu 2017 ne 2018, ate n’atendeka ne Kkooki ne Bulemeezi.
Butambala mu mpaka z’omwaka guno yatandise bubi bwe yakubiddwa Mawogola e Ssembabule goolo 1-0, wabula nga egenda kukomawo mu kisaawe ku Saturday nga 05 July,2025, okuzannya ne Kabula mu kisaawe kya Kibibi SS.
Butambala eri mu kibinja Muganzirwazza ne Kyaggwe, Ssingo, Kabula, Mawogola ne Kkooki.
Butambala tewangulangako ku mpaka za masaza, wabula yazannyako semi-final mu 2006.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













