Abantu abatanaba ku kakasibwa muwendo bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Makindu mu gombolola y’eNajja mu district y’eBuikwe ku luguudo lwa Kyetume -Katosi -Nyenga.
Babadde basaabalira mu Bus ya kampuni ya YY Mamba No. UAV 701C, eremeredde omugoba waayo neyekatta ku ttaka n’oluvanyuma n’ekwata omuliro.
Abelabiddeko n’agabwe ng’akabenje kagwawo, bagamba owa Bus abadde agezaako okutaasa owa bodaboda ayingidde ekkubo mu ngeri y’ekimama, ku kkubo eriva e Busubi okudda e Makindu.
Mu kugezaako okutaasa owa bodaboda, omugoba wa bus agisibye omulundi gumu kwekumulemerera neegwa ku ttaka neyefuula, n’ekwata omuliro.
Abantu 7 bebaakalabibwako nga bavuddemu nga balamu.
Ba kaawoonawo bagamba nti babadde bava Kampala nga boolekera district ye Mbale.