Emyaka giweze 62 bweddu, bukyanga government ya Bungereza eddiza Buganda ameefuga gaayo, nga 08 October,1962.
Obwakabaka bwa Buganda bwasalawo okukuza olunaku luno mu nkola y’okukuza bulungi bwansi n’okuggumiza government ez’ebitundu.
Omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti “Bulungi bwansi mu bavubuka abateeketeeke obulungi g’emaanyi ga Buganda”.
Emikolo gya bulungi bwansi egy’omwaka guno 2024, giyindira ku gombolola ye Nyenga mu ssaza Kyaggwe.
Enteekateeka eno ebaddemu emisomo n’emikolo egyenjawulo, Okuggumiza enkola y’amateeka, ekyoto, okusimba emiti,okuyonja ebitundu, n’okutongoza mayiro ya Bulungi bwansi okuva e Wakisi okutuuka e Wabikookooma.#