Government erangiridde nti egenda okuteeka amatabi ga kooti enkulu (High court), mu buli district okwetoloola eggwanga lyonna n’ekigendererwa eky’okutaasa bannauganda ababadde batindigga engendo okuwaaba emisango mu kooti enkulu.
Okusinzira ku minister avunaanyizibwa kubya mateeka n’essiga eddamuzi, Norbert Mao, enteekateeka eno esuubirwa okutandika mu bbanga lya myaka 2 gyokka okuva Kati.
Minister Norbert Mao, ategeezezza nti okubeera ne kooti entono nabalamuzi,kivaako emisango okwetuuma mu kooti, ne gitawulirizibwa mu budde obwetagisa.
Mao abuulidde bannamawulire nti eky’emisango okulwa mu kooti kyabulabe, era kityoboola eddembe ly’obuntu, kuba ekyazitesaawo kwekulaba ng’abantu bafuna obwenkanya, kale nga okubakandaaliriza kirinnyirira enfuga y’amateeka.
Norbert Mao abyogeredde ku media centre mu Kampala, bw’abadde alangirira olukuηaana olutuumiddwa Gumzo la ADR conference 2026, olutandika nga 9 March,okutuuka nga 13, mwebagenda okusomesa abantu ku mitendera gyonna egikwata ku ngeri gyebayinza okugonjoolamu obutakaanya nga tebagenze mu kooti.
Mu ngeri yeemu Minister Mao agambye nti bagenda kukozesa olukuηaana luno okwongera okutendeka abalamuzi ku ngeri gyebasobola okugonjolamu emisango mu bwangu.
Asuubizza okwongera amaanyi mu kooti etambuzibwa oba mobile court, emisango gy’abantu gigonjolwe mu kiseera ekituufu, kimalewo enkaayana n’okusika omuguwa, oluusi omuva ne bizibu ebirala.












