Obwakabaka bwa Buganda butongozza ssabbiiti ya Bulungibwansi ne government ezÉbitundu 2025, omuli emirimu egigenda okukolebwa ku lwÓbulungi bwÁbantu ba Kabaka.
Obwakabaka bwa Buganda buli nga 8 October, buli mwaka bukuza Olunaku luno nÉkigendererwa ekyokujjukira abantu ba Buganda abakoze eby’enkizo, n’ebyafaayo byÓbwakabaka eri Uganda eya wamu.
Olunaku luno lugenda kukuzibwa mu ssaza Kyaddondo mu gombolola ye Busukuma, era nga kano kabonero akooleka obuwanguzi bwÉssaza Kyaddondo mu nkola yÉmirimu mu Bwakabaka.
Ebimu ku bigenda okukolebwa mu ssabbiiti eno mulimu Emisomo eri abaami ba Kabaka ku mbuga yÉgombolola ye Busukuma, nga 4/10 wabeewo okutongoza kaweefube wÁmaka amalungi Akaalo Amatendo mu gombolola ya Mukulu wa Kibuga.
Wagenda kubaawo ekivvulu kya Bulungibwansi mu Baana ku ssetendekero wa Kisubi, ate wabeewo omusomo gwÁbasajja ku mbuga yÉssaza e Kyaggwe.
Wagenda kubaawo olusiisira lwÁbasikawutu okuva nga 4, ate wabeewo nÓmusomo gwÓkunnyikiza Obukulembeze ku ssaza nga olusirika ogunaggalwawo Owek Hajji Ahmad Lwaasa omumyuuka wÓmukubiriza wÓlukiiko lwa Buganda.
Mungeri yeemu nga 6/10 ku mbuga yÉgombolola ya Masekkati Nabweeru , wakubaawo omusomo gwokunyikiza Obukulembeze , nga gwakukulemberwaamu Owek Isreal Kazibwe Kitooke.
Bwabadde atongoza ssabbiiti eno mu Bulange e Mengo omukubiriza wÓlukiiko lwa Buganda Omulangira Patrick Luwaga Mugumbule , yebazizza abantu ba Kabaka mu masaza gonna olwokukola obutaweera okukola ebizza Buganda ku Ntikko, nga beenyigira mu Bulungibwansi.
Minister wa Bulungibwansi , Butondebwansi nÉkikula kyÁbantu Owek Mariam Mayanja Nassejje era nga yagenda okukulemberamu entekateeka zonna, asabye abantu ba Kabaka mu gombolola zonna okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaabwe.
Dr. Sarah Nkonge Muwonge akulira ETTEREKERO lyÉbikozesebwa mu Bulungibwansi , yebazizza bonna abawagidde entekateeka ya Bulungibwansi, omuli Olukiiko lwÁbakadde mu Buganda oluwaddeyo Enkumbi.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Nakato Janefer












