Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omulundi ogwe 12 okuva lwejaatandikibwawo, gitongozeddwa ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, nga gyakubaawo nga 06 April,2025.
Emisinde gyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Abasajja tube basaale mu kulwanyisa Mukenenya, nga tutaasa Omwana omuwala”
Emisinde gino bye bimu ku bikujjuko ebigenda okusookawo mu nteekateeka y’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwe 70.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yaatongoza emisinde gino egyetabiddwako bannamukago abenjawulo, okuli Airtel abavujjirizi abakulu, I & M bank, UNAIDS, Nivana water n’abalala.
Katikkiro asabye government n’ebitongole ebyenjawulo okutema empenda ezinaayambako okuvujjirira enteekateeka z’okulwanyisa siriimu mu Uganda, kiyambeko ku kuziba eddibu eryazzeewo oluvannyuma lwa government ya America okuggya enta mu buvujjiirizi bwebadde ewa amawanga ga Africa okulwanyisa siriimu.
Agambye nti okumegga Mukenenya tekulina kwesigamizibwa ku buyambi bwÁbazungu bokka, naasaba banna Uganda okwenyigira obutereevu mu lutalo luno.
Katikkiro asabye abavubuka abalenzi nÁbawala okweewala Mukenenya nga bakola ebyo ebyetaagisa, Omuli okukomolebwa okwa kyeyagalire, okukozesa Obupiira n’okwekuumira mu masomero, okwekebeza buli kadde, okwewala okwejabaata n’ebirala.
Minister wÁbavubuka Ebyemizannyo nébitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, asabye abantu bÓmutanda okulwaanyisa Mukenenya nga bwebadduka emisinde gyÁmazaalibwa ga Kabaka.
Omukungu mu Uganda Aids Commission Canon Dr. Ruth Ssenyonyi, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olwÓkufuba nataasa abantube Obulwadde bwa Mukenenya ng’ayita mu misinde gy’amazaalibw abwe n’enteekateeka endala, nagamba nti entekateeka eno tekomye kuyamba Buganda yokka wabula Uganda nénsi yonna.
Omukungu mu UNAIDs Sarah Nakku, ategeezezza nti obulwadde bwa Mukenenya bukyali kizibu eri abantu ba Kabaka ne Uganda yonna, nga abantu mukaaga buli ssaawa bebakwaatibwa Mukenenya mu Uganda, naasaba okulwaanyisa Mukenenya kweyongeremu amaanyi.
Flavia Ntambi Lwanga ku lwa ssenkulu wa Airtel Uganda abavujjirizi bÉmisinde gyÁmazaalibwa ga Kabaka abakulu , yeeyamye nti Airtel yakwongera okuteeka ensimbi mu misinde gino, okuteekesa mu nkola ekiragiro kya Kabaka.
Ssenkulu wa I and M Bank Robin Bairstow, naye yebazizza Empologoma olwomukwaano eri abantu baayo, neyeeyama okwongera ensimbi mu Misinde gino.
Omujoozi gwémisinde gyÁmazaalibwa ga Kabaka gwakutundibwa ku mitwalo 20,000/= mu bifo ebyenjawulo okwetoloola eggwanga lyonna.