Obwakabaka bwa Buganda bugumizza abantu ba Kabaka ababadde beewanise emitima olw’okuggyibwa kwa Buganda ku Map ya Uganda, nti abakola ebyo beenoonyeza byabwe era bannakigwanyizi abakotoggera Buganda.
Obubaka okuva mu Bwakabaka obusomeddwa Minister w’Amawulire n’Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke mu Bulange e Mmengo, agambye nti “Teri muntu yenna asobola kusiimuula Buganda ku Map ya Uganda”
Ensonga y’okuggya Buganda ku Map ya Uganda, Ssaabasajja yagyogerako bweyali ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 63 mu 2018, e Villa Maria mu Buddu n’agamba nti ekiruubirirwa ky’abantu abakola ekyo yali tannakitegeera!
Mu mwaka gwegumu 2018, ne Kamalabyonna Owek. Charles Peter Mayiga oluvannyuma lw’okusisinkana n’abakulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga, yategeeza Obuganda nti abakulu baali beetonze olw’ensobi eyakolebwa mu butali bugenderevu.
Wabula ennaku ntono eziyise waliwo Map ya Uganda eyafulumye era ebunye omutimbagano ng’ekitundu kya Buganda tekirina wekirabikira, era nga kyasikiziddwa North Central ne South Central.