Enteekateeka ya Mmwanyi Terimba yeyubudde okudda ku mutendera oguddako ogwa “Situla Omutindo”.
Situla Omutindo yakugatta Abalimi, Abalunzi, Abatandisi b’Amasomero, Amalwaliro n’abakozi ba Business ezenjawulo n’amaka amateeketeeke obulungi agalabirirwa,agalina kabuyonjo,akatandaalo n’emmere ey’okulya.
Enteekateeka eno egendereddwamu okusisinkana abantu ba Kabaka abakola emirimu ogyenjawulo, era Katikkiro asoose kusisinkana bavubi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde mu Ssaza Buvuma ,n’agamba nti oluvannyuma lw’Entekateeka ya Mwaanyi Terimba okunnyikira mu Bantu ba Kabaka mu Buganda n’Ebweru waabwo, amaanyi kati gagenda kussibwa ku kusitula mutindo.
Katikkiro agambye nti abantu bangi bajjumbidde okulima emmwanyi era nezikyusa obulamu bwabwe, kati kyekiseera okukubiriza abantu okusitula omutindo gwa buli kintu na buli mulimu.
Minister w’Ebyobulimi, Obulunzi n’Obwegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo agambye nti okugatta Omutindo ku buli kikolebwa mu Buganda kyakuyamba nnyo abantu ba Kabaka okugaggawalira ddala, nga byebakola bibawa ensimbi.
Omwaami wa Kabaka amulamulirako essaza Buvuma Mbuubi Michael Mboowa agambye nti okusoosowaza Abavubi Kugenda kutaasa bangi ababadde abagayaavu mu nsonga z’okubaako ebintu ebirala byebakola okweyimirizaawo, saako okwekebeza Mukenenya bamanye webayimiridde mu by’obulamu bwabwe.
Omukungu mu kitongole ki Uganda AIDs Commission Merry Namuyomba, yebazizza Obwakabaka olw’Okufa ennyo ku Bantu baabwo.
Katikkiro asoose kulambula abantu ba Kabaka mu gombolola ye Nairambi, era wakusisinkana omwami Godfrey Zebbu, agendeko ku mwaalo gwe Kasaali, akyaalireko omukyaala Omulimi w’Emwaanyi Nasuuna Agnes e Majjo, oluvannyuma akyaalireko Omulimi Wasswa Slive ku kyalo Bukaaya mu gombolola ye Busamuzi, asisinkane n’Abavubi.
Bisakiddwa: Kato Denis













