Obwakabaka bwa Buganda butadde Omukono ku ndagaano y’okukolera awamu ne Ernest Cook University, okusitula Omutindo gw’Ebyobulamu mu bwakabaka bwa Buganda.
Kulw’Obwakabaka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko yataddeko omukono, ate kulwa ECUREI, Prof. George Kirya.
Mu ndagaano eno Ernest Cook University ng’eyita mu buweereza bw’Okujjanjaba Kookolo w’Akatungulu k’abasajja n’ow’omumwa gwa Nnabaana, Kookolo w’amabeera neebika ebirala ,waakukebera abantu ba Kabaka okuzuula endwadde ezenjawulo.
Abantu 1000 bebasuubirwa okukeberwanga buli mwaka, okuyita mu ndagaano eno.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza bannamukago olwokuzuula ebiruma abantu ba Ssaabasajja, nategeeza nti Omukago guno gwakussa ettoffaali ku nkulaakulana y’abantu ba Kabaka.
Owek Charles Peter Mayiga asabye abantu b’Omutanda okwettanira abakugu mu ndwadde era abategeera kyebakola, era naawa abantu amagezi okettanira okuziyiza endwadde mu kifo ky’okulinda okugenda mu malwaliro nga balwadde.
Anokoddeyo ebimu ku bintu omuntu byasaanye okukola okusobola okwekuuma endwadde, omuli; okukola dduyiro, okunywa amazzi, okwekebeza, okwewala okulya ennyama eyitiridde, okusula obulungi, n’okulya obulungi.
Minister w’Enkulaakulana y’Abantu ba Kabaka era nga ye minister w’Ebyobulamu Owek Cotilda Nakate Kikomeko, agambye nti enkolagana wakati w’Obwakabaka ne Ernest Cook yali yatandika dda, ng’ebadde yeeyolekera mu bujjanjabi obubadde buweebwa abantu ba Kabaka mu nsiisira ezenjawulo.
Vice Chancellor wa Ernest Cook University Prof.Michael Kawooya, ategeezezza nti mu nkolagana eno basuubira okukebera kookolo w’Akatungulu mu Basajja ne kookolo w’Omumwa gwa Nnabaana, wamu n’Okugaba sikaala eri a basawo abaweerereza mu malwaliro g’Obwakabaka,okutumbula Obukugu mu nzijanjaba n’ebirala.
Mu kuteeka Omukono ku ndagaano , Ernest Cook University ekiise embuga n’Oluwalo lwa Bukadde bw’ensimbi Bubiri, okuyambako mu nzirukanya y’Emirimu mu Bwakabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis