Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde President wa Namibia H.E Dr.Hage Gottfried Geingob eyafa gyebuvuddeko.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ku lwa Buganda, asinzidde ku kitebe kya Namibia mu Uganda e Wandegeya mu Kampala, n’atendereza nnyo eby’obufuzi eby’ekintu ekikulu ebiri mu Namibia, emu ku nsi ezikyakula byagambye nti tebiriimu kirwanire ekigiteeka ku mwanjo gw’ensi ezijjudde eddembe n’emirembe mu Africa.
Katikkiro atenderezza omugenzi Hage Geingob ng’omusajja mu bisanja bye ebibiri akoze obutaweera okukyusa bannansi n’eggwanga lyonna okutwalira awamu.
Mukuuma-Ddamula agambye nti embeera eri e Namibia ewa Uganda essuubi n’ensi endala mu Africa ezikyalina okusoomoozebwa mu kukyusa obukulembeze.
“President Hage akoze nnyo okukyusa eby’enfuna n’embeera ezabulijjo eza bannansi, kale okufa kwe kyakusaalirwa nnyo, naye olw’okuba embeera yaayo yanjawulo, abadde omumyuka yalayidde dda okujira ng’akola nga president, nga bwebategeka okulonda”
Katikkiro agambye nti olw’okuba Namibia erimu emirembe, kiteekawo omwagaanya eri bamusigansimbi okugyettanira nga muno mulimu ne banna Uganda.
Omubaka wa Namibia mu Uganda, Omuk. Godfrey Kirumira yeebazizza nnyo Katikkiro olw’okubakyalirako okubasaasira n’agamba nti ekikolwa kino kiraze nti omukago gwa Buganda ne Namibia gwamaanyi.
Kirumira agambye nti banna Uganda bangi ddala abakakkalabiza emirimu mu Namibia kyokka nti ate bannansi ba Namibia bakyali batono nnyo wano mu Uganda, nti kyokka batandise okujja okuva lw’ebaafuna ekitebe.
President Hage yafudde ku Sunday nga 4 January,2024 n’asikizibwa abadde omumyuka we Nangolo Mbumba okussa mu nkola Ssemateeka ky’alagira okutuusa ng’okulonda kw’abonna kutegekeddwa.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K