Mu butongole omusumba omuggya owa Kasana-Luweero Msgr LAWRENCE MUKASA atuuse mu ssaza lino, asimbudde Kiyinda Mityana.
Ayaniriziddwa Chancellor w’e ssaza lya Kasana-Luweero Fr. Seriri Kasigwa.
Ssentebe w’Olukiiko lw’abepisikoopi era omusumba wa Kiyinda Mityana BISHOP ANTHONY ZZIWA mu butongole amukwasizza abe Luweero ng’asinziira ku Mugga Lumansi ogwawula essaza ekkulu erya Kampala ne Kasana-Luweero.
Bishop Lawrence Mukasa agenda kutuuzibwa mu missa etandika ku ssaawa ssatu n’ekitundu, afuuke omusumba owokusatu owa Kasana – Luweero.
Agenda kudda mu bigere bya Paul Ssomogerere eyalondebwa okufuuka Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala.
Bisakiddwa: James Ssebuguzi Kaana