Emyaka giweze 136, bukyanga abajulizi 25 battibwa olw’eddiini.Abakristayo 13 n’abakatuliki 12.
Ebifaananyi bino byabuumbibwa nebissibwa mu tterekero ly’ebyedda erya Uganda Martyrs Museum e Namugongo.
Abalamazi n’abalambuzi abagenda e Namugongo bye bimu ku bintu byebalaba nga batuseeyo.
Byoleka embeera abajulizi gyebattibwamu nga bafiiririra eddiini.
Baakubwa, baawalulwa ,baasanjagibwa abalala bakumwako omuliro nebateta nga balaba.
Buli mwaka nga 03 June, abalamazi okuva mu bitundu ebyenjawulo mu Uganda n’amawanga amalala bakungaanira e Namugongo okujjukira abajulizi.
Olw’obuvumu abajulizi bwebaayolesa, abakkiriza bayita mu bajulizi bano abatuukirivu okubawanjagira babawolereze eri Omukama Katonda.
Paapa Paul VI yeyasooka okulambula e Namugongo nga 02 August,1968.
Paapa paul II yakirambula nga 07 March,1993.
Paapa Francis I yakirambula nga 28 November,2015.