Abatuuze ku kyalo Wabigalo LC1 mu Ttamu Division Mityana municipality bagudde ku mulambo mutuuze munaabwe ategerekeseeko erya Ramanthan, nga yafiira mumuzigo mwabadde apangisa ennaku 5 emabega.
Bawulidde kivundu n’ensowera nga zitandise okwesomba kwekutegeera nti yandiba yafa, ab’obuyinza bayitiddwa nebamenya oluggi basanze yafa dda.
Ssentebe wekyalo Ssentumbwe Hamid agambye nti Police ezze netwala omulambo mu ggwanika e Mityana, nga n’okunonyereza bwekugenda mumaaso okuzuula ekyamusse.
Bisakiddwa: membe John