Akakiiko keby`okulonda mu ggwanga ka The Electoral Commission of Uganda kalangiridde omuwendo gwa bannauganda ogwawandiisibwa era ogusuubirwa okwetaba mu kulonda okujja okwa 2026, nga bali obukadde 21,681,491.
Abakyala bebasinga obungi, bali obukadde 11,347,129 era nga by’ebitundu 53%, ate abasajja bali obukadde 10,334,362 bye bitundu 47%.
Ebifo eby’okulondebwamu abakulembeze biri 45,500, wabula ng’abasunsuddwa okubivuganyizamu bali 83,597.
Akakiiko era kagamba nti ebifo ebigenda okulondebwamu mu kolonda kw`omwaka ogujja biri 50,739.
Bino byanjuddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Mugenyi Byabakama bwabadde asisinkanye bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala.
Mu ngeri yeemu alangiridde nti enteekateeka zonna ziwedde ez`okuddamu okusunsula abanaavuganya ku bifo ebyali bisunsuliddwamu abantu naye ne bafa.

Ssentebbe wakiiko keby`okulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama ategezeeza nti okuddamu okusunsula kuno kuweereeddwa ennaku bbiri, era nga lutandika ku Thursday nga 27th ne Friday nga 28 November,2025.
Akakiiko keby`okulonda era kategezeeza ng`omulimu gw`okukuba obukonge obugenda okweyambisibwa mu kulonda kw’omwaka ogujja bwekutandise, gwakwasiddwa Kkampuni 6, wabula nga bbiri kuzo za wano Uganda.

Simon Mugenyi Byabakama era agamba nti obuma obugenda okweyambisibwa mu kulonda kw`omwaka gunno bwayongeddwamu technologiya, omuli okuba nga tekakkiriza muntu kulondera mu kifo mwatalina kulondera, era nga kalonkoma naabo abagala okulonda omulundi ogusukka mu gumu.
Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama era asabye abantu olunamala okulonda badde ewaka, kubanga amateeka tegabakiriza kubeerawo nga bamaze okusuula akalulu, naabalabula nti ebitongole by’okwerinda byebijja okuba n’obuvunaanyizibwa ku bantu abesisiggiriza mu bifo byebatalina kubeeramu.
Bisakiddwa: Musisi John












