Ekitongole kyobwannakyewa ekirwanyisa obulyi bw’enguzi mu ggwanga ki Anti corruption Coalition Uganda kigugumbudde abakulu mu government
ab’ekitongole ekyempisa n’obuntu bulamu ki Directorate of Ethics and Integrity ekyasindiise abakozi mu kitongole kino okugenda e Singapore okubangulwa ku ngeri gyebasobola okulwanyisaamu obulyi bw’enguzi mu Uganda.
Maron Agaba ssenkulu w’ekitongole ki Anti corruption coalition Uganda agamba nti tewali kikulu kigenda kuvaayo okuggyako abantu abaasindiikiddwa okuba nti baagenze kufuna ka sente ka ssekukulu
Ekitongole kino nga kiri wansi wa ministry y’ensonga zobwa president wiiki ewedde kyabikkula ekyama nti kiriko ekibinja kyabakulu bekyasindiise kigende kifune obukodyo obupya obw’okulwanyisa enguzi.
Maron Agaba agamba nti singa government essa mu nkola amateeka agaliwo, enguzi yandibadde yafuuka dda olufumo.
Obulyi bw’enguzi n’obulyake buzze bunokolwayo mu alipoota ez’enjawulo, nti bwebusiinze okukonzibya obuweereza bwa government eri abantu, saako okukuumira eggwanga emabega.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yalabula abalyi b’enguzi nti ku mulundi guno talina gwagenda kuttira ku liiso, abasingisibwa omusango balina okusibwa ate bakomyewo n’ensimbi zebabba.#