Banna Uganda abasoba mu 80 be bakanunulwa Government ya Uganda okuva makomera g’amawanga ga Buwarabu gyebaali baggalirwa ku busango obutonotono.
Bakomezeddwawo mu bibinja, era ekibinja ekyokusatu eky’abantu amakumi abiri 20 kituuse mu Uganda mu kiro ekikeesezza leero nga 05 Novembet,2024 kyaniriziddwa abakungu okuva mu Ministry evunanyizibwa ku kikula ky’abantu.
Omwogezi wa Ministry eno Joshua Kyalimpa agambye nti okuteebwa kw’abantu bano kwavudde mu nteeseganya wakati wa government ya Uganda neya Saudi Arabia.
Ekibinja ekyokusatu kibaddemu bawala beerere.
Bannamukago ogugatta bankuba kyeyo ogwa Uganda Federation of All Uganda Migrant Workers’ Associations ne KYEYO ASSOCIATION UGANDA nga bakulembeddwamu Olooka Kennethy basiimye omulimu ogukoleddwa government ya government okuva lwe yatondawo enkolagana nabo.
Mu kwaniriza bana Uganda bano abakungu okuva mu mukago ogutaba ebibiina ebinoonyeza banna Uganda emirimu mu mawanga amalala, ogwa External Recruitment Agency gukiikiriddwa omwogezi wagwo Easter Nabaju, ategeezezza nti ekisinga okuviirako banna Uganda ebizibu n’okuggalirwa mu makomera ebweru butakolagano bulungi wakati wabakama babwe,amakampuni oba oluusi ne government.#
Gusakiddwa: GeorgeWilliam Kakooza