Kyadaaki banna Uganda 211 batuuse ku butaka okuva mu Sudan ewali okulwanagana okw’amaanyi, wakati w’ebiwayi by’amagye ebikaayanira obuyinza.
Nga bakulembeddwamu omubaka wa Uganda mu Sudan Hajji Yahaya Ssemuddu, batuuse ku ssaawa munaana n’ekitundu ez’ekiro ekikeesezza olunaku lwa Thursday, mu nnyonyi ya Uganda Airlines ekika kya Air Bus A330-800.
Olugendo olubakomyawo mu Uganda balumazeemu ennaku 4, okuva ku Sunday bus lwezaasimbula ku African University ne ku kitebe kya Uganda mu Sudan mu kibuga Khartoum, neziboolekeza Ethiopia.
Mu Ethopia gyebabadde balindira ennyonyi ya Uganda Airlines ebatuusizza kuno, oluvanyuma lwa Sudan okuwera ennyonyi zonna obutasaalimbira mu bwengula bwayo.
Ekibinja kya banaUganda bano ekikomyewo kirimu abayizi ababadde basomera e Sudan, abasubuuzi, abamu abakozi ku Kitebe kya Uganda e Sudan ate n’abaddu ba Allah abaali bagenda ku Hijja e Mecca.
Ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe baniriziddwa amagye agakuuma president Museven aga SFC, agakulembeddwamu Gen.Muhoozi Kainerugaba.#