Bannamateeka ba munnakibiina ki PFF era eyavuganyako ku ntebbe yobwa president Rtd Col. Dr.Kiiza Besigye Kifeefe bagaanyi okusaba kwa government kweyateeka mu kkooti, nga bagala nti okuwuliriza emisango egivunaanibwa abantu babwe nabalala gikwatibwe mu nkola eyokukweeka abajjulizi.
Col Dr Kiiza Besigye ne munne Hajji Obed Lutale, baawambibwa mu ggwanga lya Kenya nga 16 November, 2024 nebakunguzibwa okukomezebwawo mu Uganda, government nebaggulako emisango gyokulya mu nsi olukwe n’emirala.
Okuva mu November 2024, bali mu nkomyo.
Gyebuvuddeko government ngeyita mu bawaabi baayo, yateekayo okusaba mu kkooti enkulu ey’Omulamuzi Emmanuel Baguma okuwozesa abantu bano mu nkola eya twekisize, ng’abajjulizi ababalumiriza okuzza emisango egibavunaanibwa bakwekeddwa tebalabikako okugyako okuwulira amaloboozi gabwe.
Okwanukula kwa bannamateeka ba Col Besigye kwebaatadde mu kkooti, bawakanyiza okusaba kwa government kuno.
Munnamateeka Ssaalongo Elias Lukwago agambye nti omuntu wabwe tasobola kufuna bwenkanya mu nkola eno eyokumuwozesa mu nzikiza
Olwaaleero nga 31 March,2026 Col Dr Kiiza Besigye ne banne bwebavunaanibwa lwebasuubira okukomezebwawo mu kooti ku musango guno.#












