Ba ssaabawandiisi b’ebibiina by’obufuzi ebiri mu mukago gwa Inter Party Organisation for Dialogue (IPOD) bagaanyi okulambika okwabagibwa minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi ne Ssaabawaloereza wa government, ezigendereddwamu okuteekesa mu nkola etteeka erifuga ebibiina byobufuzi mu ggwanga erya the Political parties and Organisations Act 2025.
Okulambika kuno okumanyiddwanga statutory instrument , minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi Nobert Mao yakwanjulira parliament, neesindiikibwa mu kakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka okuzekeneenya.
Wabula CBS ekitegeddeko nti ba Ssabawandiisi b’ebibiina okuli owa NRM, Jeema, PPP, DP UPC ne FDC baawandiikidde akakiiko ka parliament kano akalondoola eby’amateeka, nga bakasaba kagobe okulambika mwa minister ne Ssaabawolereza wa government nti kulimu ebirumira bingi.
Basabye nti okwetegereza okulambika kuno kuyimirizibwe okutuusa ng’akalulu ka bonna aka 2026 nga kaawedde
Ba Ssabawandiisi bebibiina bya IPOD bano era basabye akakiiko ka parliament kano ak’ebyamateeka kabaweeyo akadde ,bagende gyekali okusaba kwabwe kuno n’okuwakanya okulambika kuno bakuteeka mu lwatu, mu maaso gabannamawulire n’ensonga zebatakaanyako bazoogere ensi ezitegeere.
Balumiriza nti ensonga zonna zebakkanyaako mu IPOD ezaali zirina okuteekebwa mu nnambika y’etteeka lino okulisobozesa okukola zaakyuusibwa olwo minister naayanjulamu byebatakanyaako.
Bagamba nti ezimu ku nsonga zebatakaanyako kwekuli eyokutwala ekitebe kya IPOD wansi w’ekibiina ekigatta ebibiina byobufuzi mu ggwanga ki National consultative Forum, songa abakulu mu IPOD baasalawo nti ekitebe kya IPOD n’omukago gwa IPOD gwennyini gube nga gwetongodde.
Basabawandiisi b’ebibiina bino kwebasinzidde okusimbira ekkuuli n’okugaana okulambika kw’etteeka lino erifuga ebibiina byobufuzi mu ggwanga.#













