Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Rugby mu Uganda ekya Uganda Rugby Union, kirangiridde Athiyo Muhammad nga omutendesi omugya owa ttiimu y’eggwanga eyabakazi eya Lady Cranes eyabazannyi 15.
Athiyo Muhammad alondedwa nga besigama ku bumanyirivu n’omuwanguzi bwabalaze ku club ya Heathens egucangira mu liigi ya babinywera eya Rugby.
Athiyo azze mu bigere bya Charles Onen, era aweereddwa obuvunanyizibwa okuyisa ttiimu munteekateeka zonna ez’omwaka guno 2026.
Athiyo Muhammad agenda kumyukibwa Kigongo Ssebalamu ne Byron Okuba, ate nga Dorcus Mundua Asiimire ye ttiimu manager.
Bagenda kukutandikira ku kutegeka ttiimu eno okuzannya emizannyo egy’omukwano ne Tunisia, n’oluvanyuma betegekere empaka za Rugby Women’s Africa Cup ezinabaawo nga 21 okutuuka nga 31 omwezi ogw’okutaano omwaka guno e Nairobi Kenya.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe











