Minister weebyenjigiriza omubeezi JC Muyingo, n’omuteesiteesi omukulu mu Minisitry ye byenjigiriza, Alex Kakooza, baasaba abasomesa okudayo mu bibiina nokuwa gavumenti ebbanga lya myezi 2 ngensonga zaabwe bwebazigonjoola ne ministry ekola kunsonga zabakozi ba gavumenti wabula kino kyagudde butaka.
Eron Namaasa, ssentebe w’abasomesa abasomesa abasawo mu mukago ogwa Medical Educational Tutors Association Uganda (MEA-Uganda), agambye nti akeedimo kaabwe olwaleero kayingidde olunaku 3, era tebalina nteekateeka yakudiriza mu kusalwo kwabwe.