Obwakabaka bwa Buganda butenderezza emirim egyenjawulo egikoleddwa Omugenzi Ambasador William Solomon Kaboga Matovu mu Buganda, Ugnada n’ensi yonna.
Omugenzi Owek.Amb.William Solomon Kaboga Matovu nga abadde ku lukiiko olw’okuntikko olw’ekitongole kya Sabasajja Kabaka ekya Kabaka Foundation yava mu bulamu bwensi ku Friday nga 2 May,2025 ku yaka 86 egy’obukulu.
Aziikiddwa ku kyaalo Mpala Nkumba mu ssaza Busiro wakati mu nkumi n’enkumi zabakungubazi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti omugenzi abadde muntu wanjawulo mu ngeri gy’abadde akwatamu ensonga.
“Obumanyi bwa Owekitiibwa Ambassador Matovu tujja kubusubwa nnyo, naddala nti alese tawandiise kitabo kyonna”
Katikiro akubirizza banna Uganda okwettanira okuwandiika ebitabo n’okusoma ebiwandiiko okuyambako abasigala kunsi okujulizaamu obubaka obwenjawulo.
Omukolo ogwokuwerekera omugenzi gutandise nakusaba okwokwebaza Katonda olw’obulamu n’ebirungi Katonda byamukozesezza, kukulembeddwamu Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Bishop Jackson Matovu.
Omukulu w’ekika kye Ngabi omutaka Nsamba Lukonge akiikiriddwa KatiKkiro w’ekika eyawummula Omutaka Cositantino Kiwano Mulyanga, naye asiimye emirimu egikoleddwa omugenzi eri ekika kye, nawanjagira abaana b’omugenzi okusigaza obukkakamu,empisa n’obwetowaze omugenzi by’abadde nabyo.
Ambassador William Solomon Kaboga Matovu yaliko omubaka wa Uganda e Bungereza, China, India, Congo, Russia n’amawanga amalala, era nga yaliko n’omulamuzi mu kitongole ky’ensi yonna ekya UN.
Aziikiddwa ebikonge bingi okuva mu government eyawakati neye Mengo,okubadde Nnaalinya Sarah Kagere, abaaliko ba Katikiro ba Buganda Amb Emmanuel Ssendawula, Owek. JB Walusimbi, ba Minister ba Kabaka,abakiise mu lukiiko lwa Buganda, bannabyabufuzi, Bannaddiini,nabakungubazi bangi okuvva mu Uganda n’ebweru.
Bisakiddwa: Kakooza George William