Wabaluseewo okutya okw’amaanyi olw’amazzi okuziba ettaawo eribadde likozesebwa abantu okusala oluguudo lwa Entebbe Express way mu bitundu bye Makandwa okusala okudda e Kitende, kati abantu bayita waggulu ku luguudo ekiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga.
Abatuuze bategeezezza CBS FM Emmanduso nti embeera eno yatandika mpola kati emyaka 2 egiyise, nebeekubira enduulu eri bekikwatako mu Kajjansi Town Council naye tebafunanga kuyambibwa.
Maria Nakiganda omukiise ku town council ye Kajjansi agambye nti bagenda kutuukirira ministry y’ebyenguudo ebayambe mubwangu, okutaasa abantu abasazeewo okuyita waggulu lu luguudo okuyita emmotoka ejiweenyuuka obuweewo.
Ssentebe wa district ye Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika alambuddeko ku ttaawo erijjudde amazzi, n’agumya abatuuze nti district egenda kukolera wamu ne ministry y’ebyentambula okusalira awamu amagezi mu bwangu ng’ekiwundu tekinasamba ddagala .
Oluguudo lwa Entebbe Express High Way lwelumu ku nguudo ez’ebbeyi munsi yonna, nga nejjebuli eno government ya uganda ekyasasula ebbanja eri government ya China eyalukola.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo