Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Minister w’Ebyobulamu Owek. Cotilda Nakate Kikomeko wamu n’ababaka b’Olukiiko lwa Buganda ku kakiiko k’Ebyensimbi n’akakiiko k’Ebyobulamu balambudde emirimu egikolebwa ku mwaliro ga Buganda agayitibwa Muteesa II hospital e Busimbi mu Ssingo ne Mukungwe mu Buddu.
Owek. Nsibirwa ategeezeza nti omulimu gutambula bulungi era okuzimba kulina kumalirizibwa omwaka guno 2024, olwo omwaka ogujja 2025 eddwaliro liteekebwemu ebikozesebwa litandike okukola.
Balambudde n’eddwaliro eddala erizimbibwa e Mukungwe mu ggombolola Mutuba III Mukiise,mu Ssaza Buddu.
Enteekateeka eno erimu amalwaliro asatu, eddala lizimbiddwa mu ssaza Kyaggwe.
Owek. Nsibirwa asinzidde eno n’akubiriza Abaami ba Kabaka okukuuma ettaka ly’Obwakabaka lyonna , kyanguye enkulaakulana okuteekebwako nga Kabaka bw’aba Asiimye. Akikaatirizza nti okwewala abasaatuusi ku ttaka, lirina okuba nga liriko ebikolebwako, era wano abasabye waakiri balimireko emmwanyi n’okusimba emiti, ettaka lireme kubeera kkalu.
Yeebazizza obukulembeze bw’Essaza Buddu naddala eggombolola eno eya Mutuba III Mukiise olw’okulwanirira ettaka ly’Embuga y’Eggombolola kati ewateereddwa n’eddwaaliro.
Mu ngeri yeemu Olukiiko olulondoola Enteekateeka Nnamutayiika w’Obwakabaka olukulemberwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo lutandise olusirika olw’ennaku 3 okukuba ttooci mu bituukiddwako mu Nnamutayiika 2023 – 2028.
Balambudde Embuga y’Essaza Buddu, ewagenda okuzimbibwa ekisaawe n’ekifo ewateekebwateekebwa okukulaakulanya essomero ly’abaana abato eryatuumiddwa “Pookino Nursery School”.