Alipoota envanyuma ekwata ku buzzi bw’emisango mu Uganda, eraze nti abaana n’abavubuka bangi beenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bwamateeka, kyokka ng’emisango gyabwe mingi tejiggusibwa mu nkola ennambulukufu ey’amateeka.
Alipoota etuumiddwa “Juvenile and Youth Crime in Uganda”, yalondodde obuzzi bw’emisango mu bavubuka n’abaana wakati w’emyaka 12 ne 35, eraga nti abenyigira mu misango egyenjawulo eminene neemitonotono omuwendo gweralikiriza naddala wakati w’omwaka 2017 ne 2024.
Alipoota eraze nti wadde obuzzi bw’emisango buzze bukyukakyuka, wakyaliwo bingi ebiviirako abavubuka n’abaana okwenyigira mu bikolwa eby’okwetta, okulwanagana, okubba, obufere, okukabasanyizibwa mu by’omukwano, obutujju, emisango gy’okumitumbagano, enguzi, okukozesa ebiragalalagala nebirala.
Alipoota eraga nti obwavu, obutabanguko mu maka, emikwano emikyamu, obutayigirizibwa, obutamanya, amateeka ageebitege n’obutagakwasisa bulungi, endwadde z’emitwe, obutamanya, enguzi, enkulakulana y’ebibuga, omujjuzo mu bitundu nebirala byebimu ku bisinze okuviirako obumenyi bwamateeka okweyongera naddala mu baana n’abavubuka.
Dr. Kasirye Rogers, ssenkulu w’ekitongole kya Uganda Youth Development Link, (UYDEL), asinzidde ku Protea Hotel mu Kampala mu kusoma alipoota eno, naawabula government, abazadde n’ebitongole ebikwatibwako ensonga, okusembeza obuwereza bwa police eri abantu baabulijjo, amateeka okutekebwa mu nkola n’okugakwasisa, obumenyi bw’amateeka bwebuba bwakukendeerako.
Agambye abaana n’abavubuka abazza emisango bali wakati w’emyaka 12-35 egy’obukulu, ng’ejisiinga gyekuusa ku kukabasanya n’okukabasanyizibwa mu by’omukwano, obubbi n’rmirala, nanenya government olw’ikuteeka amaanyi ku kutangira emisango egyannaggomola ng’obutujju, ate emisango emitonotono ng’obubbi nejisuulirira.
Sharon Nyambe, okuva mu kitongole kya United Nations office on drugs and Crime, (UNODC), asabye government ya Uganda okukola etteeka ekkakali eriyinza okutangira abavubuka n’abaana okwenyigira mu kukozesa ebiragalala, n’okusiga ensimbi okunonyereza ku bibalo ebituufu ebikwata kubaana nabavubuka abenyigira mu muze guno mu ggwanga.
Milton Tiyo, amyuka kaminsona w’eby’amakomera akubirizza ebitongole ebirwanyisa ebiragalalagala naabazadde obutasuulira buvunanyizibwa bwabwe ku nkuza y’abaana, ekibaviirako okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis









