Akawumbi ka shs 1.598 zezaakasondebwa Omwaka guno 2024, nga zino zisinze ku nsimbi ezaleetebwa mu mwaka 2023.
Oluwalo 2024 luggaddwawo Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku mukolo oguyindidde mu Bulange e Mengo, eranga lwetabiddwako abantu bangi ddala.
Gombolola okubadde Mutuba 4 Kampala Masekkati ne Mutuba 3 Makindye , Mukulu wa Kibuga Lubaga, Mutuba 5 Kawempe, Mutuba 2 Nabweru ne Ssaabagabo Lufuka mu Kyaddondo, Mutuba 4 Kawuga Kyaggwe ne Mutuba 6 Katwe mu Buddu bakiise embuga , nga bano baleese Obukadde 258.
Amasaza amalala okuva ebweru wa Uganda agakiise embuga kuliko North West Pacific mu America, essaza lye Bungereza, Sweden ,Scandinavia,South West America ,New England ne United Arab Emirates.
Katikkiro bw’abadde abatikkula oluwalo luno n’okuggalawo olw’omwaka guno 2024, atenderezza Obumu obwoleseddwa Abantu ba Kabaka mu langi z’Ebyobufuzi zonna n’Enzikiriza ezenjawulo, kyokka naalabula abalengezza Obwakabaka okukikomya bunnambiro.
Katikkiro agambye Ssaabasajja tasosola mu bantu ab’engeri zonna, era n’ategeeza abagezaako okwawukana ku Nnyinimu nti ezo nsonga zabwe.
Katikkiro agambye nti Obukozi obwoleseddwa Abantu ba Kabaka mu Kulima n’Okulunda wamu n’Okulwanyisa endwadde, n’okusonda Oluwalo kabonero akooleka Obuwanguzi mu Buganda.
Minister wa government ez’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka emitala wa Mayanja Owek Joseph Kawuki, yebazizza abakulembeze ku mitendera gyonna abakola ekisoboka okuleeta ensimbi.
Omwami wa Ssaabasajja Ow’Essaza Kyaddondo Kaggo Haji Ahmed Magandaazi Matovu, agambye nti Obumu obwolesebwa mu Kyadondo bukoze kinene okusukkulumya Essaza Kyaddondo ku Masaza gonna, ne ku mutendera gw’Egombolola.
Abaami b’Amagombolola okubadde Mutuba III Makindye Hajji Musa Ssemmambo ,Omumbejja Mariam Ndagire akulembera Mutuba 2 Nabweru n’Abalala , beeyamye okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri y’Enkulaakulana mu bantu ba Kabaka.
Abaami ba Kabaka abenjawulo okuva mu Mawanga g’ebweru bebazizza Nyinimu, olwokusiima natuusa obuyambi obwenjawulo ku bantube, ekibawa amaanyi okuwagira entekateekaze zonna.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Nakato Janefer