Akakiiko k’ebyokulonda aka The Electoral Commission of Uganda kawabudde abeesimbyeewo ku bwa president abavuganya mu kalulu ka 2026, okwewalira ddala okukuba enkuηaana mu bifo okuli obutale, okuliraana amalwaliro n’amasomero.
Mu butongole kakuyege wabagala obwa president atandise olwa leero nga 29 September,2025.
MunnaNRM Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni agenze Munyonyo okutongoza manifesto ya NRM ,munnaNUP Robert Kyagulanyi agenze Jinja , Robert Kasibante owa National peasants party agenze Mityana ne Kasanda, ate Nandala Mafaabi atandikira mu Buikwe, Bulira Frank Kabinga owa Revulutionary People’s Party ali Bugiri, ne Mubaraka Munyagwa owa Common Man’s Party atandikidde Kawempe, ate Mugisha Muntu owa ANT ne Elton Joseph Mabiriizi owa Conservative Party tebatandikiddeewo.
Omwogezi w’akakiiko kebyokulonda Julius Julius Muchunguzi agambye nti abebyokwerinda tebalina muntu noomu kwaabo abesimbyeewo gwebagenda okukkiriza okukuba enkuηaana okuliraana bifo ebirambikiddwa.
Akakiiko kebyokulonda era kaweze okukuba enkuηaana ku nguudo ekivaako okutaataaganya ebyentambula.
Ba agent babeesimbyeewo baatadde emikono ku ndagaano ezikakasa nti bakaanyizza n’amateeka agafuga ebyokulonda mu ggwanga nga bwegaabalabikiddwa.#













