Okusunsula n’okuwandiisa abanaavuganya ku bifo by’obubaka bwa parliament mu kalulu ka 2026 kutandise okweyoloola ebitebe bya district byonna mu Uganda.
Okusunsula kwakumala ennaku bbiri nga 22 ne 23 October,2025.
Ebyokwerindwa binywezeddwa ku bitebe byonna okuziyoza abantu abayiinza okuleetawo akacankalano, era abagenda okusunsulwa tebakkirizibwa kugendayo na bantu bangi.
Ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala ekiteekeddwa e Ntinda, saako ne ku kitebe kya district ye Wakiso waliwo abaakedde ennyo ng’okusunsula tekunatandika, era enkuba ekedde okutonnya ebakubidde wabweru.
Alex Waiswa Mufumbiro munna NUP ali mu kkomera ng’avunaanibwa ogw’okwetaba mu paleedi emenya amateeka, yoomu ku bamaze okusunsulwa okuvuganya ku kifo ky`omubaka wa Nakawa East mu Kampala.
Abanaakirira ebibinja by’abantu eby’enjawulo omuli abakozi, abaliko obulemu, abakadde n’abavubuka, bbo basunsuliddwa ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala.#













