Akakiiko k’eggwanga ak’’ebyokulonda ka The Electoral Commission of Uganda kataangazizzai ku misango egikandaaaliridde ennyo egyawaabwa gyekali.m ngábalonzi beemulugunya ku beesimbyeewo, naddala abo ababuusibwabuusibwa ku buyigirize obwetaagibwa ku kifo ky’ababaka ba parliament.
Emisango egitunuuliddwa ennyo bannnansi gyebeeesunga okuwulira ennamula yagyo, kwekuli ogwa Sodo Aine Kaguta muto womukulembeze weggwanga eyeesimbyeewo ku kifo kya Mawogala North ku kaadi ya NRM, Hajji Ali Mulyanyama eyeesimbyeewo ku kaadi ya NUP ku kifo kya Makindye East.
Abalalal kuliko Brigadier Emmanuel Rwashande munnaNRM eyeesimbyewo ku kifo kyómubaka akiikirira Lwemiyaga saako Mathias Mulumba Walukagga eyeesimbyeewo ku kifo kya Busiro EAST.
Abaabawaabira babalumiriza obutabeera nabuyigirize obwa senior eyomukaaga, nga buno etteeka erifuga okulonda ababaka ba parliament likifuula kyabuwaze omuntu ayagala ebifo ebyo okubeera nabwo.
Wadde emisango egyo gyawaabwa dda nga ne kakuyege tannatandika, kumpi omwezi guno ogusigaddeyo okulonda kutuuke akakiiko kakyasirise tekannalamula kisembayo, ekireetedde abaagiwaaba okwemulugunya.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Muchunguzi agambye nti emisango egyo gikyaliko bingi akakiiko byekakyekenneenya.
Akakiiko kagamba nti bwekanaaba kamaliriza okwetegereza ensonga zabwe mu bujjuvu bwazo, kaakuwa ensala.
Ebyo nga bikyaali awo, akakiiko kebyokulonda kali ku muyiggo gwabakozi abasoba mu mitwalo 25, abagenda okukola nga ba polling officials neba polling assitants mu bifo ebironderwamu okwetoolola eggwanga.#












