Akakiiko k’ebyokulonda ka The Electoral Commission kasazizaamu Mutabwire Patrick Kyamukaate ku ky’okuvuganya ku kifo ky’omubaka w’obugwanjuba bwa Uganda akiikirira abakadde, oluvannyuma lw’okulemererwa okuleeta emikono egy’essalira egy’abantu abamusemba okuvuganya ku kifo ekyo.
Ekiwandiiko ekissiddwako omukono gwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama kirambise nti Mutabwire yasigazza emikono 6 gyokka, ku mikono 10 egyessalira gyeyalina okuba nagyo okuwandiisibwa okuvuganya ku kifo ekyo.
Wadde nga Mutabwire yaleeta emikono 10 egyamusabibwa, kyazuuliddwa 4 ku bbo baali baaseemba dda munne bwebavuganya Jacqueline Mbabazi era eyasooka okusunsulwa ku kifo kye kimu.
Ensalawo eno yavudde ku kwemulugunya okwatwalibwa yo Tuhairwe Jackson, eri akakiiko k’eby’okulonda nga yemulugunya ku mikono gya Mutabwire Patrick Kyamukaate gyeyatwala mu kakiiko nti gyaliko akabuuza.
Mutabwire yewolereza nti emikono gyeyatwalayo gyali mituufu.
Wabula oluvannyuma lw’akakiiko k’eby’okulonda okuddamu okwekennenya emikono gyabwe bonna abavuganya ku kifo kye kimu, kyazuuliddwa ng’emikono gy’abantu 4 ku mikono 10 egyatwalibwayo Kyamukaate, gyali gyalabikira mu mikono ekye 90, egyatwalibwayo Jackline Mbabazi era nga yeyasooka okuwandiisibwa.
Bisakiddwa: Betty Zziwa













