Obunkenke buli olukya bweyongera mu bannabyabubufuzi abattunka n’emisango mu kakiiko k’ebyokulonda ak’eggwanga egyabawawabirwa nga gyekuusa ku ngeri gyebaasunsulwamu okuvuganya ku bifo by’obubaka bwa parliament aka 2026.
Okwemulugunya akakiiko k’ebyolonda kwekakolako kuliko abantu obutabeera na biwandiiko byassalira ebya senior eyomukaaga, abalala okukozesa ebiwandiiko ebitali byabwe, nebijingirire, abalala okukozesa emikono emijingirire songa abalala nti beewandiisa mu constituency ezitaliiyo mu nteekateeka y’eggwanga
Mu kwekenneenya kuno,waliwo abazze bagobebwa mu bifo byebewandiisizaamu.
Jayne Kalumba eyali asunsuddwa okuvuganya ku kifo kya Gomba West ne Ayen Ernest eyali asunsuddwa okuvuganya ku kifo ky’abavubuka mu bukiiko kkono bw’eggwanga (northern Uganda) bebaakasembayo okugobwa mu lwokaano.
Jayne Kaljmba akakiiko kamugobye mu lwokaano olwobutaba nabuyigirize bwassalira.
Mu nsala yomulamuzi Simon Byabakama Mugenyi ssentebe w’akakiiko k’ebyolonda gyatadde mu kiwandiiko kyawandiikidde abadde yesimbyewo yennyini nebannamateeka be, anyonyodde nti omukyala Jayne Kalumba bweyali yeewandiisa yakozesa obuyigirize obwa degree nti gyeyafuna okuva mu University ya Uganda Pentecostal University.
Wabula nti degree eyo University eno yagyegaana nti tegimanyiiko, olwo candidate nasigala nga talina biwandiiko birala ebyessalira okusigala mu lwokaano ,akakiiko kwekumugobamu.
Omulala awandukuluddwa mu lwokaano ye Ayen Ernest eyali yeesimbyeewo okukiikirira abavubuka mu parliament okuva mu kitundu kyobukiika kkono bw’eggwanga, akakiiko kamulanze kukyuusa emyaka neyezza buto.
Okusinziira ku nsala y’akakiiko kano, omukulu Ono Ayen Ernest yakyuusa omwaka mweyazaalibwa okuva mu mwaka gwa 1995 okudda ku 1996 okumusobozesa okudda obuto kimusobozese okutuukiriza emyaka egirambikiddwa abavubuka, kwebalina okweewandiisiza okukiirira abavubuka banaabwe.
Emisango emirala egikyali mu kakiiko kuliko , ogwa Sodo Aine Kaguta muto w’omukulembeze w’eggwanga eyeesimbyewo ku kifo kya Mawogala North ku kaadi ya NRM.
Abalala ye Hajji Ali Mulyanyama eyeesimbyeewo ku kaadi ya NUP ku kifo kya Makindye East,Brigadier Emmanuel Rwashande munnaNRM eyeesimbyeewo ku kifo kya Lwemiyaga saako Mathias Mulumba Walukagga eyeesimbyeewo ku kifo kya Busiro East abagambibwa nti tebalina biwandiiko bya senior eyomukaaga eyessalira omuntu okuvuganya ku bubaka bwa palament
Emirala kuliko ogwa Joel Ssenyonyi omubaka wa Nakawa West ne David Sserukenya owa munisipaali ye Makindye Ssabagabo abagambibwa nti beewandiisa mu constituency ezitaliiyo mu mateeka g’eggwanga lino.#












