Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza ennambika ey’enkomeredde enaagobererwa nga bawandiisa n’okusunsulamu abanaavuganya ku ky’omukulembeze w’eggwanga.
Abaagala ekifo ekyo baakuwandiisibwa mu nnaku bbiri okuli 23 ne 24 September ku kitebe ky’akakiiko kano ekiggya e Lubowa, Kigo Lweza Road okutandika ku ssaawa bbiri ez’okumakya okutuusa ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Abakulu bategeezezza nti ayagala ekifo ekyo ateekeddwa okubeera munna Uganda mu buzaale, ng’aweza emyaka 18 n’okugenda waggulu era nga yewandiisa ku lukalala lw’abalonzi.
Mu mbeera yeemu ateekeddwa okutuukiriza ebisaanyizo by’obuyigirize ebyekkeenenyezeddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza eby’awaggulu (Ng’alina ebbaluwa ya A-Level oba ekigyenkanankana).
Ateekeddwa okuba nga yawaayo dda emikono gy’abamusemba 100, mu buli district 98 ezessalira.
Abakulu balambise nti anaawandiisibwa waakuwaayo n’enteekateeka ye ey’okukubamu kampeeyini eziritandika nga 29 omwezi guno.
Mu nnambika eno abakulu bategeezezza nti abantu bokka abakkirizibwa okutuuka ku kitebe kyabwe mu nnaku ezo beebo bokka abayite oba abaasunsulwa okulondoola enkola y’emirimu ne bannamawulire bokka abaakakasibwa okusaka amawulire g’okusunsula.
Abaneewandiisa balagiddwa obutagenda nabantu basukka 20, era baagala emmotoka bbiri zokka nga buli emu erimu abantu abatasukka 10 nga n’omugoba kwali.
Akakwakkulizo kano omukulembeze w’eggwanga wadde naye avuganya tekamukwatako.
Bagambye nti ayagala okwewandiisa, ateekwa buteekwa okugenda ku kakiiko mu buntu.#













