Akakiiko ke byokulonda kasobeddwa olwa abantu abagala okwesimbawo ku bwa President ababatwalidde emikono egya bantu ababasemba okwesimbawo nga mijjingirire, era nga tejjiri mu alijjesita ye ggwanga eya balonzi.
Etteeka erirungamya okulondebwa kwomukulembeze weggwanga erya presidential election Act liragira abantu bonna abagala okweesimbawo ku ntebbe yobukulembeze bweggwanga okukungaanya emikono egisemba abantu bano okwesimbawo.
Mu buli district bano balina okukungaanyaaaaayo emikono 100 mu districts ezikola ebitundu 2/3 ku muwendo gwa districts zonna eziri mu ggwanga.
Abantu abawerako baatwaaala dda emikono gino eri akakiiko kebyokulonda wabula emikono gyamuntu omu yekka Yoweri Kaguta Museveni, akakiiko kebyokulonda gyekagamba nti gyegyaasaangiddwa nga tegiriimu birumira era eno yawereddwa certificate eraga nti yatuukiriza akakwakulizo kano.
Omwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agamba nti abantu abalala abatwaala emikono eri akakiiko kano mu kiseera kyekimu nemwaami Museveni, egyaabwe girimu ebirumira bingi akakiiko byekakyaatereeza nga kakolera wamu neba agent babantu baabo abagala okwesimbawo
Okusinziira ku Paul Bukenya ,abamu ku bano akakiiko kazze kabalagira okuddayo okukungaanya emikono emirala oluvanyuma olwegyeeyo gyebaatwaala okubaamu ebirumira
Ebyo nga bikyali awo, Obukiiko bw’abavubuka ku mutendera gwe ggombolola olwaleero lwe bulonda obukulembeze bw’abavubuka ku mutendera gwa zi district, n’ebibuga, mu kwetegekera okufuna obukulembeze obunaalonda abakiise b’ebitundu ebyenjawulo mu paalamenti.
Omusigire wekifo ky’omwogezi w’akakiiko k’eby’okulonda, Paulo Bukenya, agambye nti ku luno okulonda kugenda kubeera kwa kyaama, ssikwakusimba mu mugongo nga bwekibadde.