Emmotoka ya Taxi No. UAX 036F etomereganye ne mmotoka ya buyonjo No. UBG 615A kika kya Fuga ekutte omuliro yonna nebeengeya.

Akabenje kagudde ku ttaawo lye Namboole Bweyogerere, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja, essaawa zibadde zikunukkiriza okuwera emu ey’okumakya nga 01 November,2024.
Omwogezi wa police y’ebidduka Micheal Kananula agambye nti abantu 3 bakoseddwa mu kabenje kano nebaddusibwa mu malwaliro.
Kananula alabudde abagoba b’ebidduka naddala mu kaseera kano aknkuba okuvuga n’obwegendereza,oba okuguumiikirizako enkuba neemala okukya..#











