Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabazannyi abatasusza myaka 17 egy’obukulu eya Uganda Cubs ekubiddwa Burkina Faso goolo 3-2, mu mupiira ogw’omukwano mu kwetegekera empaka za Africa Cup of Nations U17 ez’omwaka guno.
Empaka zino zigenda kuzannyibwa okuva nga 30 March,2025 okutuuka nga 19 April,2025 e Morocco.
Guno gwe mupiira ogw’omukwano Uganda Cubs gwesoose okuzannya munkambi gye yakuba e Morocco mu kwongera okwetegekera empaka zino.
Goolo za Uganda Cubs 2 ziteebeddwa abazannyi Ssozi Derrick ne James Bogere.
Uganda Cubs mu mpaka za AFCON U17 eri mu kibinja A n’abategesi aba Morocco, Tanzania ne Zambia.
Uganda Cubs y’egenda okuggulawo empaka zino ng’ettunka ne Morocco nga 30 March,2025.
Omutendesi wa Uganda Cubs Brian Ssenyondo yatwala ttiimu yabazannyi 22 okwetegekera empaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe