Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abeetabye mu misinde egyókukuza amazaalibwage ag’emyaka 69, abaddukidde mu bitundu by’ensi ebyenjawulo, beeyanzizza nnyo Maasomoogi okusiima naakulemberamu olutalo olwókulwanyisa akawuka ka mukenenya.
Bano beeweze obutatiirira Nnamulondo nókussa ekitiibwa mu biragiro ebiva embuga.
Emisinde gy’omwaka guno 2024 gitambulidde ku mulamwa ogw’okulwanyisa siriimu, okukubiriza abaami okukulrmberamu kaweefube on, abalina akawuka okunyiikiria okumira eddagala n’okubudaabudibwa, atabalina okwongera okwekuuma mu mbeera zonna, saako okwekebeza.
Abantu abasoba mu mitwalo 100,000 bebetabye mu misinde gino, egisimbuddwa Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, mu lubiri lwa Kabaka e Mengo, n’ebitundu ebirala byonna eby’ensi gisiimbuddwa abakungu abenjawulo.
Mu babaka Omuteregga bwatisse Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga mu kusimbula emisinde gyÁmazaalibwa mu Lubiri e Mengo, Empologoma eragidde abantu baayo okwongera okwekuuma Mukenenya, kino kiyambeko mu nkulaakulana yéggwanga.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambise abakola ogwÓkubudaabuda abalina akawuka ka Mukenenya bongeremu amaanyi, kiyambeko mu kuzzaawo essuubi mu bakalina nga omu ku kawefube wÓkukamegga mu mwaaka 2030.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda obutakoowa kukola bizza Buganda ku Ntikko, kyokka nategeeza nti bino byonna byakutuukibwaako nga waliwo Obulamu obweyagaza.
Katikkiro mungeri yeemu atenderezza abaddusi bonna abeetabye mu misinde gy’Amazaalibwa ga Beene mu bitundu by’ensi ebyenjawulo.
Katikkiro atenderezza omuddusi asinze Obukulu Dr. Kaddu Wasswa omulwanirizi wÓbutonde ne bulungi bwansi, naasaba abeere kyakulabirako.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gyetabwamu abantu bonna abakadde n’abato#