Munna NRM era yaliko minister w’ebyokwerinda Vincent Bamulangaki Ssempijja ayogedde kaati nti simusanyufu n’agamu ku mateeka government gyakkiririzaamu g’eyisa, agambye nti agamu gaviiriddeko Banna-Uganda okubeera mu mbeera etali nnungi.
Vincent Bamulangaki Ssempijja abyogeredde ku Nana Hotel mu kibuga Lukaya mu district y’eKalungu mu kiro ekikeesezza olwa leero nga 06 December,2025.
Babadde ku mukolo abesimbyewo ku kifo ky’omubaka wa Kalungu East saako ebifo ebirala ebyobukulembeze e Kalungu bwebabadde bakubaganya ebirowoozo ku miramwa egyenjawulo.
Enteekateeka eno ekoleddwa ekibiina ki Lukaya United family ekigatta abaana enzalwa mu Lukaya n’emiriraano wakati nga ekibiina kino kujaguza emyaka etaano bukya kitandikibwawo.
Ssempijja nga y’omu ku bavuganya ku kifo ky’omubaka wa Kalungu East agambye nti wadde yali lukiiko lwa ba minister saako mu parliament amateeka gano gyebaagayisiza, kyokka nti waliwo agamu nga simumativu nago kyokka nti yali talina bwogerero.
Omubaka wa Kalungu East aliyo mu kiseera kino Munna-Nup Katabaazi Francis Katongole kyokka nga ku mulundi guno yammiddwa card ya NUP asinzidde wano nakolokota nnyo abakulu mu kibiina kino, n’okubalangira nti bandiba nekobaane okusanyaawo ekibiina kino, okusinziira ku ngeri gyebaagabamu kaadi z’ekibiina eri abantu abesimbawo okuvuganya mu kalulu ka 2026
Akwatidde Democratic Front kaadi ku kifo ky’omubaka wa Kalungu East, Kintu Matia Musoke awaliriziddwa okudduka mu kukubaganya ebirowoozo kuno wakati mu kulumiriza ababadde bakubirize enteekateeka eno okuba ne kyekubiira.
Akwatidde Dp bendera ku kifo kyekimu, Kabonge Asuman atabukidde bakira abamubuuza ekyamuleetedde okujjira ku kaadi ya Democratic party ate nga Dp yatta omukago ne NRM.
Abalala abakubaganyizza ebirowoozo mubadeemu abesimbyewo ku bwa mayor wa Lukaya saako ba kkansala, kyokka abakwatidde NUP bendera baazize omukolo guno.
Abesimbyewo bakubaganyizza ebirowoozo ku byenfuna byekitundu saako ebikwata ku butonde bw’ensi, obukulembeze n’enteekateeka endala.
Omulungamya wa Lukaya United family Makya Stuart agambye nti baasazeewo okuyita abesimbyewo bakubaganyize wamu ebirowoozo ku ngeri gyebagenda okusitulamu district y’eKalungu.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru







