Abamu ku bakungu ba government ne mu bitongole ebyenjawulo abakozesa obugombe mu mmotoka zabwe nga tebalina lukusa bali kubunkenke, olw’ebikwekweto amagye ne police byebaatongoza ku nguudo ezitali zimu.
Eggye ly’eggwanga erya UPDF ne police bAatandise ebikwekweto, okufuuza abantu ababadde bakozesa obugombe bw’emmotoka mu bumenyi bw’amateeka saako ababukozesa nga tebakirizibwa.
Ebikwekweto bino byatwaliddEmu emmotoka z’abakungu ezitali zimu, era eziweerako zikwatiddwa era zikuumibwa ku police.
Kigambibwa nti n’abamu ku baddereeva b’abakungu mu mmotoka zino bakwatiddwa olw’okuvuga obubi, era bagenda kuggulwako emisango egitali gimu.
Kigambibwa nti abakulu mu magye ne police baalagidde abantu bonna abakozesa obugombe nga tebakirizibwa mmotoka zabwe ziboyebwe, basobole okwenyonyolako engeri gyebaafunamu obugombe bwebakozesa.
Ssemateeka wa Uganda yalambika abantu abateekeddwa okubeera n’obugombe ku kkubo omuli President w’e ggwanga, omumyuka we, Ssaabalamuzi, Ssabaminister, abakulembeze b’ennono n’abakungu abalala abagwa mukowa eryo.
Wabula waliwo abakozi ba government abatalina lukusa, saako abawagizi b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, n’abamu ku bantu ba bulijjo ababadde beewa olukusa nebateeka obugombe mu mmotoka era nga babukozesa okusaggula amakubo gyebayita, ekintu ekimenya amateeka.
Akola ng’omwogezi wa UPDF Col. Chris Magezi agambye nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso mu bikwekweto bino nti kubanga kiteeka ebyokwerinda by’eggwanga mu katyabaga, n’okulinnyorora eddembe ly’abantu abalala abakozesa ekkubo.












