Abamu kubannauganda abasimatuka ekirwadde kya Kookolo balabudde kukabaate akali mukwejjanjabisa eddagala lyakinansi , nga bangi kubbo bagenda okutuuka mumalwaliro nga ebeera yasuka dda ogwomulamuzi ,
Banno nga bayambibwako ekitongole kya Uganda Women’s Cancer Support Organisation basinziridde Bakka Muggombolola ye Mende Mu district ye Wakiso wababadde bakunye okubaako okutema empenda kungeri gyebayinza okusitulamu embeera zebyenfuna byabwe nebasaba bannauganda okugenda mumalwaliro ga gavumenti okuzuulanga endwadde zebatategeera .
Getrude Nakigudde Ssenkulu wekitongole kya Uganda Women’s Canncer Support Organisation agamba nti bafubye okulaba nga bongera okuteeka esuubi mubantu abasimatuuka ekirwadde kino nga bayita mu project ezibakulakulanya gamba nga okulunda enkoko , embizi , okulima nebirala
Akulira eddwaliro lya Mende Health Centre ii Kalyango Frank agamba nti omuwendo gwabantu abakwattibwa obulwadde bwa Kansa gweyongedde mu wakiso ne Kampala nga era kati basabye minisitule yebyobulamu okutandiikawo enkola eyokukebera abantu obulwadde bwa kookolola okwobuwaze kubuli malwaliro ga gavumenti .
Okusinziira ku kitongole kya Uganda Cancer Institute ku buli bannauganda 100000 abantu 300 bebalina obulwadde bwa Cancer nga era Cancer womumwa gwanabaana yakyasinze okuttirimbula abantu .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo