Obukadde bwa shilling za Uganda 7,540,000/= bwebusondeddwa bannabuululi mu nkola ya Luwalo Lwange.
Ensimbi zino zisondeddwa amagombolola okuli Mumyunka Kakooge, Musaale Wabinyonyi, Mutuba I Nakitoma, Sabawaali Kalungi, Ssaabaddu Nabiswera, Mutuba IV Nakasongola ne Ssabagabo Kabyata Bubiito mu ssaza Buluuli.
Oluwalo luno lutikkuddwa Minister omubeezi ow’ebyobulimi n’obwegassi Owek. Hajji Hamisi Kakomo nga ono abadde akiikiridde Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Owek. kakomo asabye bannabululi okwongera okwettanira okulima emmwanyi okweggya mu bwavu n’okwekuuma endwadde.
Ssabawolereza wa Buganda era Minister wa government ez’ebitundu Owek. Christopher Bwanika asabye abazadde okuyigiriza abaana empisa y’okusonda oluwalo, era naabebaza olw’okwagala Ssabasajja Kabaka.
Omwami we’Ssaza Buluuli Kimbugwe Gerald Kyanjo yebazizza abakulembeze b’amagombolola agakiise embuga olw’obujjumbize bwebalaze mu luwalo luno, era naabasaba okwongeramu amaanyi omulundi oguddako basingenawo.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen