Abazigu ababadde n’ebijambiya n’emiggo bayiingiridde amaka g’omwami wa Kabaka ow’essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Byekwaso Kaberenge II, agasangibwa ku kyalo Mabuye mu town council ye Zigoti mu district ye Mityana.
Banyaze ebintu ebiwerako omuli n’emmotoka y’obwakasujju, ewandiikiddwako ebigambo nti Obwakabaka bwa Buganda Owessaza Kasujju.
Emmotoka ebbiddwa kika Kya Toyota Harrier UBK 650Y nzirugavu mu langi.
Abantu bawaka nabo babakubye emiggo nebaleka nga babasibye n’akandooya.
Omwogezi wa police mu bitundu bye Wamala Reachel Kawala agambye nti police esindikiddwa e Zigoti okutandika okunonyereza9 ku bulumbaganyi buno.#