Government ya Uganda kyaddaaki ekomezaawo abayizi bannauganda 41 ababadde baagenda mu Iran okukakkalabya emisomo, ng’entabwe eva ku lutalo olwabaluseewo wakati wa Iran ne Israel.
Wiiki eweze namba ng’okulwanagana kukyayinda wakati wa Iran ne Isreal, nga buli ludda lukasukira lunaalwo ebikompola omufiiridde ba Nnaalumanya ne ba Ssaalumanya.
Abayizi bano baniriziddwa Ssabaminister wa Uganda Robinah Nabanja ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe nga aliwamu n’omwogezi wa magye ga UPDF Maj.Gen Felix Kulaigye.
Ssaabaminister Nabbanja yebazizza President President olwokulagira abaana bano nebakomezebwawo ku butaka.
Agambye nti ne bannauganda abalala abakyali mu Iran enteekateeka zikolebwa okulaba nga nabo baddizibwa ku okwaboobwe.
Abayizi abakomezeddwawo bagambye nti embeera ebadde nzibu gyebali era ne beEbaza government ya Uganda olw’okubaZza ku butaka bwabwe.
Bino webijidde nga n’omubaka wa Kyaddondo East era minister ku ludda oluvuganya government avunaanyizibwa ku nsonga zensi enddala Muwada Nkunyingi, yawandiise ekiwandiiko ng’alaga obutali bumativu eri government okufuuka kyesirikidde ku bannauganda abali mu ggwanga lya Iran, sso nga ekwatibwako butereevu okusaawo enteekateeka enambuluku ebakomyawo.










